UKRAINE olutalo olukyusizza n’eruzza munda mu Russia, bw’esindise abasajja abakambwe ne basalako ekitundu kya Russia, olwo Putin n’eggyayo abalwanyi ababadde mu ddwaaniro basooke bamuyambe okukinunula.
Obulumbaganyi buno bwakoleddwa mu kitundu ku nsalo y’amawanga gombi ekya Belgorod ekiri mu buwanvu bwa km 40 (mayiro 25) okuva ku nsalo ya Ukraine okuyingira munda mu Russia. Kigambibwa nti Ukraine yeekobaanye n’ebibinja by’abalwanyi abakambwe ennyo abaakyawa Putin, baavudde Ukraine ne batebuka amagye ga Russia ne basalako ekitundu.
Ebibinja by’abalwanyi okuva e Russia byavuddeyo ne byewaana okukwatagana ne Ukraine ne biwamba ekitundu kino, kuliko ekya ‘Liberty of Russian Legion’ ne ‘Russian Volunteer Corps nga bino bizze bivumirira nnyo Putin olw’olw’olutalo lw’e Ukraine.
Abatuuze b’e Belgorod we bwazibidde ku Lwokubiri nga bakyali mu ddukadduka oluvannyuma lw’abajaasi ba Russia okuzza omuliro eri abalumbaganyi olwo emmundu n’eyongera okutokota ng’omuwendo gw’abaakafiira mu tegunnamanyika.

Aboobuyinza e Russia baategeezezza nti Disitulikiti ya Grayvoronsky ye yasinze okukosebwa obulumbaganyi buno bangi badduse dda mu maka gaabwe, wabula ne bategeeza nti bakola ekisoboka okuzza embeera mu nteeko.
Gavana w’ekitundu kino, Vyacheslav Gladkov, yategeezezza emikutu gy’amawulire nti abakambwe abaalumbye baatandikidde ku kukuba ofiisi zonna ezitwala essaza eryo, ofiisi z’ekitongole kya Russia ekikessi ekya Federal Security Service (FSB), okwonoona enguudo n’amayumba g’abantu nga bakozesa ennyonyi bakira ezikasuka emizinga.
Kyokka omwogezi wa Putin, Dmitry Peskov yategeezezza nti ensonga eno Putin yagitegeddeko dda n’ayungula bakkomando beyawadde essaawa mbale okununula ekitundu kino. Wabula yagambye nti kano kakodyo ka Ukraine okuggya Russia ku mulamwa gw’okumaliriza kaweefube w’okuwamba ekibuga kya Bakhmut – ekisangibwa mu Buvanjuba bwa Ukraine ekimaze abbanga ng’enjuyi zombi zikirwanira.
Bino bijjidde mu kiseera ekisuubirwamu Ukraine okukola okwerwanako okw’amaanyi okununula ebitundu byayo Russia bye yawamba nga n’ebimu Putin yalangirira ddala nti byafuuka bya Russia nga bwe kyali ku kya Cremea mu 2014.
MINISITA ABADDE ABADDE AWAKANYA PUTIN KU BY’OLUTALO AFUDDE MU NGERI ETANKANIBWA
Minisita wa Putin amaze ebbanga ng’awakanya olutalo lw’e Ukraine yafiiridde ku nnyonyi mu ngeri ey’ekibwatukira n’aleka ebibuuzo.
Pyotr Kucherenko 46, abadde Minisita omubeezi ow’ebyassaayansi n’ebyenjigiriza mu Gavumenti ya Russia, yafiiridde ku nnyonyi ng’ava e Cuba ku mirimu emitongole.

Gavumenti ya Russia yategeezezza nti Kucherenko yagwiriddwa ekirwadde eky’amaanyi ng’ali ku nnyonyi mu lugendo oludda eka abasawo ne bagezaako okumutaasa ne bireme.
Kyokka omu ku bannamawulire abagundiivu mu Russia, Roman Super abadde yaakaddukayo olw’obutawagira bulumbaganyi Russia bwe yakola ku Ukraine, yasinzidde ku mukutu gwa Twitter n’alangirira nti yabadde yaakoogera n’omugenzi ennaku ntono emabega ng’amuwa amagezi nti adduke mu Russia kubanga Gavumenti ya Putin ejjudde abatemu.
Yayongeddeko nti omugenzi yamutegeeza nti yandyagadde okudduka mu Russia naye Gavumenti yabaggyako dda paasipooti nga kizibu jaali okuddukira mu nsi endala yonna ne bamwaniriza.
Okufa kwa Kucherenko kuwezezza abanene 13 mu Gavumenti ya Russia abazze bafa mu ngeri etategeerekeka bukya olutalo lw’e Ukraine lutandika.
Kigambibwa nti bano Putin azze abanyiga mu kimugunyu olw’okumufuukira akayinja mu ngatto nga bamunenya olw’okulumba Ukraine mu lutalo olumaze ebbanga lya mwaka mulamba n’okusobamu.