Omutendesi wa kiraabu ya Villareal Unai Emery amenye ebyafaayo bwawangudde ekikopo kya Europa liigi ekyokuna. Ono weyatendekera Sevilla yajiwangulira ebikopo 3 mu myaka essatu egy’omuddiriŋŋanwa olwo kw’ogatta ne kino kye yawangudde nga akuba Manchester United eya Bungereza ku lwokusatu lwa wiiki gyetukubye emabega. Bangi essuubi lyabwe lyababadde mu ttiimu ya Man U etendekebwa omutendesi Ole Gunna Solskjaer wabula Villareal yakuumye ebyafaayo bya ttiimu ze Spain kubanga zino buli wezisanga eze Bungereza ku kamalirizo ze ziwangula era nga ttiimu ya Bungereza eyasemba okuba eya Spain ku kamalirizo mu mpaka za Bulaaya yali Liverpool bweyakuba Alaves mu 2001.
Eno yeyabadde fayinolo ya Villareal eyasoose ku Bulaaya wabula n’egiwangula, era nga kino Shakter Donestk eye Ukraine yeeyokka eyali ekikozeeko mu 2008-09 n’etuuka ku fayinolo omulundi ogusooka ate n’ewangula ekikopo nga kya Bulaaya. Abange gino emikisa gyonna Villareal gyeyafunye olowooza tegyavudde ku mutendesi Unai Emery?
Likodi ya Emery mu Europa.
- Unai Emery atuuse ku fayinolo ze kikopo ekya Europa liigi emirundi egisinga obungi okusinga omutendesi yenna (5) ku Bulaaya.
- Unai Emery emirundi gyonna gyeyeetabye mu mpaka za Europa liigi, agenze maaso n’okutuuka ku fayinolo era nga akubiddwako omulundi gumu gwokka.
- Unai Emery awangudde ebikopo bya Europa Liigi bina (4) ku Sevilla 2014, 2015, 2016 ne Villareal 2021 okusinga omutendesi yenna. Giovanni Trappatoni ye mutendesi abadde ne likodi nga yawangula ebikopo bisatu (3) nga atendeka Jventus mu 1977 ne 1993, ne ku ttiimu ya Inter Milan mu 1991.
- Unai Emery ttiimu emu gyatawangudde nayo kikopo nga atuuse ku fayinolo ya Europa liigi nga ye Arsenal eye Bungereza era nga eno yakubwa Chelsea mu 2018/19.
- Unai Emery awangudde abatendesi abenjawulo okuli:
2013/14 yakuba Jorge Jesus owa Benefica.
2014/15 yakuba Miron Markevich owa Dnipro Dnipropetrovsk
2015/16 yakuba Jurgen Klopp owa Liverpool
2018/19 yakubwa Maurizio Sarri owa Chelsea
2020/21 yakubye Ole Gunna Solskjaer owa Man United
Zino zandiba ensonga enkulu lwaki Villareal etaalowoozebwako yawangudde empaka zino nga terina bumanyirivu bwonna netuuka n’okukuba Mnachester United ttiimu egisinga obumanyirivu.
Yo Manchester United yakubiddwa omulundi ogw’omukaaga mu muzannyo nga gugeenze mu kusimulagana obunnya.
Omutendesi wa Villareal Unai Emery akoze ebyafaayo mu Europa Liigi
Abazannyi ba Villareal nga bajjaganya oluvannyuma lwokuba Man u