Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bipimo n’omutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kirabudde abantu ku bubbbi obw’olukujjukujju obukozesebwa abasuubuzi ab’enjawulo abatunda ebintu ebitawera mu biseera by’ennaku enkulu.
Jackson Mukisa, omukungu okuva mu kitongole kino agamba nti olw’okuba abantu bangi bali mu keetalo k’okugula ebintu , abasuubuzi nabo bakozesa olukujjukujju lw’okubabba mu ngeri ez’enjawulo.
Agamba muno mulimu okukozesa ebipimo ebitawera ne batunda ebintu ebitawera abantu bye bagula nga tebafunye bituufu .
Abalala baguza bakasitoma ebintu ebyayitako oba ebibulako ebbanga ettono okuggwaako .
Yayongeddeko nti ssinga osanga ebintu ebitawera ku katale kirungi okubatemyako basobole okubirondoola bakwatibwe .