Amyuka Omuduumizi w’eggye lya UPDF, Gen. Peter Elwelu ategeezezza nti omujaasi wa Militale eyalabikira mu katambi nga awalabanya omupoliisi wa poliisi y’ebidduka yamaze dda okukwatibwa nga kati alinze kimu kusimbibwa mu mbuga z’amateeka.
Bino Elwelu abyogeredde mu Palamenti bw’abadde ayanukula omumyuka wa Sipika, Thomas Tayebwa eyasabye annyonnyole ekikoleddwawo ku nneeyisa y’omujaasi ono.
Amyuka Sipiika Tayebwa agamba nti abajaasi basusse okuyisa obubi abapoliisi b’oku nguudo era ensonga eno ajja kugitwalira ddala okutuuka ku muduumizi w’amagye ow’okuntikko era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
‘ Tugenda kutwala ensonga eno eri omudduumizi w’amagye ow’okuntikko. Bwekiba nga kino kye kituukawo wakati w’ abakuumadddembe ate kibeera kitya ku bantu ba bulijjo?’ Tayebwa bw’agambye.
Bw’abadde ayanukula Tayebwa, Elwelu agamba nti ebikolwa by’omujaasi ono byabadde bibi nnyo bwatyo neyetonda ku lwe ggye lya UPDF nagattako nti omujaasi ono yamaze dda okukwatibwa era agenda kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye.
Omubaka wa Kalungu West mu Palamenti, Joseph Ssewungu avumiridde enneeyisa y’abajaasi nategeeza nti beetaaga okukomako kuba bafuuse ekirala.
Ssewungu agasseeko nti emmotoka eziriko ennamba z’amagye zikola obuvuyo n’okumenya amateeka awatali abakuba ku mukono.
Ekikyasembyeyo be bajaasi ba Militale ababadde mu mmotoka nnamba D02DF08P, abakutte owa Tulafiki amataayi ku Mmande okuliraana ekizimbe kya Mukwano Mall ku luguudo lwa Kyaggwe Road olw’okubagamba okulindako era bino byonna byabadde bikwatibwa ku katambi akasaasaanidde omutimbagano.