Ekitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya URA kisaanyizzaawo ebyamaguzi ebizze bikwatibwa olw’obutabaako sitampu za musolo .
Ebitereke by’ebyamaguzi eby’enjawulo ebiwera 13,391 nga muno mulinu omwenge gw’obucupa kumbucha ,Vodka n’ebirala byasaanyiziddwaawo mu kifo ky’amagye e Nakasongola ku Lwokubiri /

Robert Lumanyika Wamala akolanga addirira omwogezi wa URA yagambye URA okusalawo okusaanyawo eby’amaguzi kyaddiridde okuyita banannyini byo okugenda ku kutebe kyabwe e Nakawa okugisasulira omusolo ng’amateeka bwe galambika wabula nebagaana.
Eby’amaguzi 13 byebirina okusasula omusolo ogwa digital tax stamp nga muno.muzingiramu beer, waragi wobucupa ,eby’okubwa ebyanjuice ,sooda ,wine ,amazzi ga mineral water ,sementi ,Sukaali ,butto nga birina okuteekebwako stamp y’omusolo