9.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

UTCL yeddiza kampuni y’essimu eya UTL

Government etonzeewo kampuni empya gyetuumye Uganda Telecommunications Corporation Limited eyeddiza kampuni y’essimu eya Uganda Telecom limited (UTL).

Kampuni ya UTL government yali yagitundamu emigabo mu mwaka gwa 1999, n’egiguza government ya Libya.

Ministry za government bbiri zezigenda okuvunaanyizibwa ku kampuni eno okuli MInistry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga saako MInistry y’amawulire  nokulungamya eggwanga, nga buli Ministry erinako emigabo ebitundu 50%.

Mu nteekateeka eno, ministry zino zigenda kulondaanga olukiiko oluddukanya kampuni eno.

Kampuni eno empya eya UTCL etongozeddwa ku kizimbe Telecomunication House mu Kampala.

UTCL yekwasiddwa ebintu n’ebyobugagga byonna ebyali ebya kampuni ya Uganda Telecom limited.

Kinnajjukirwa nti Minister omubeezi ow’ebyensimbi avunanyizibwa ku bamusiga nsimbi Evelyn Anite, neyali omumyuka wa Ssaabawolereza wa government Mwesigwa Rukutana beyogerera ebisongovu, oluvannyuma lwa minister Anite okutegeeza nti waaliwo olukwe lw’abamu ku bakulu mu government okubba ebyobugagga bya kampuni ya UTL.

Werutuukidde olwaleero, ng’ebyobugagga ebiwerako ebyali ebya kampuni ya UTL byatundibwa.

Ebadde etubidde mu mabanja agakunukiriza mu buwumbi 300, songa naabaali ba customer baayo abasinga obungi omukutu gwa UTL baguddukako dda, saako n’abaali abakozi baayo abaagikuba mu mbuga z’amateeka olw’ensimbi zabwe zebaali babanja

Related posts

KITALO! Br.Fr.Annattooli Waswa afudde.

OUR REPORTER

Eyavuganya ku bwa pulezidenti awadde ebiragiro ebikambwe ku Covid.

OUR REPORTER

Nambooze atabukidde abakozesa ambulensi z’abalwadde nebazivugiramu emirambo

OUR REPORTER

Leave a Comment