ABAKULIRA ebyenjigiriza mu distulikitti y’e Wakiso bayisizza ebiragiro ebipya ku masomero okwongera okunyweza ebyokwerinda .
Bino byakakasidwa Janat Nakabugo omu ku batwala ebyenjigiriza e Wakiso era nga ebimu kibiragiro bye yasomedde amasomero kuliko;
Abaddukanya amasomero bateekeddwa okubeera ne nnamba z’amasimu ez’aba OC b’ebitundu , ez’aba ssentebe b’ebyalo saako n’ezabatwala ebyokwerinda abalala bonna kiyambeko okwekubira amangu enduulu singa babeera balumbiddwa abazigu oba akabi konna nga kaguddewo.
Basabidwa okufuna ebitongole ebirina abasirikale oba abakuumi abatendekeddwa obulungi abalina n’emmundu be babeera batandika okuwa emirimu gy’okukuuma amasomero .

Abalina obusobozi baweeredwa amagezi okufuna n’obukuumi bw’embwa ezitendekeddwa obulungi nazo ziyambeko mu kukuumanga mu budde bw’ekiro .
Amasomero gasabiddwa okukoma okuterekanga ssente enkalu ku masomero wabula gatandike okweyambisa tekinologiya ow’amasimu okuterekanga fiizi w’abaana ku akawunti za bbanka.Okwogera bino yasinzidde mu kulawuna agamu ku masomero e Wakiso nga kino baakikoledde wamu ne poliisi z’omu kitundu okwabadde n’abasirikale abazikiriza omuliro wamu n’ab’ebitongole by’okwerinda abatendeka embwa .
Abasirikale baayongedde okukubiriza amasomero okugula ebyuma ebizikiza omuliro ( fire extinguisher) era ne bongera n’okutendeka abayizi wamu n’abasomesa enkozesa y’ebyuma bino okuzikiza omuliro wamu n’okulaga obukodyo engeri embwa gye zisobola okukuumamu amasomero nga ziyambibwako ab’ebyokwerinda.