Bya Nyanzi Live
Ensi gyeyeyongedde okukyuuka, ebintu bingi nabyo bizze bikyuka wabula nga kino kivira ddala kubantu nadala abavubuka okukyusa endowoza zabwe nebajumbira okukola ebintu oba oli awo abasokawo byebatetanira nnyo.
Emirimu gyejikomye okubula nadala mubavubuka abasomye, bangi bayiyizawo enkola ezabwe mwebayinza okukolera nebafuna ekigulira Magala ediba. Wano mu Ssekanolya tugenda kulambulira kubutya bwoyinza okukozesa yintanenti nokyusa embera yo mubuli lupapula luno werunafulumanga okuva ne leero.

Newankubadde munsi yona yintanenti yatandikamumyaaka gya 1960, omwaka gwa 1983 munsi yona lweyatongozebwa wabula wano ewaffe kubutaka, yintanenti tujitegedde nnyo okuva mumwaaka gwa 2010.
Abasoka okujikozesa bakozesa nga nnyo Google, Yahoo nemikutu emirala wabula nga batono nnyo abafuna kukumanya butya bwoyinza okujikozesa okufuna sente.
Okusokera ddala okufuna sente okuva ku google wetaaga ekiyitibwa Google Adsense nga eno yekola nga ensawo sente zokula ku yintanenti gyezetereka.

Olw’okubanga ekozesebwa okutereka sente, Google wano yasawo obukuumi bungi okutangira banakigwanyizi okuziba era nga waliwo emitendera gyoyitamu okukakasa nti sente zzo ziri mumikono mitufu era nga kino bwokikola omutima gulina kubera mugumu.
Awo wetugenda okutandikira sabiti eggya nga tukubulira ejimu kumitendera gyoyina okukola okukakasa nti sente zo zokoze ku yintanenti zikumibwa bulungi.