17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEbyemizannyo

YINGINIYA E KASESE ASIBYE KU BUTIIMU OBUTONO N’AKUBA OBUKADDE 201

Wadde nga ku kapapula ke teyataddeko Manchester United, Manchester City, Real Madrid, PSG, Juventus omuwanguzi wa wiiki yalaze nti amanyi betting bweyakubye obukadde 201.

Omuwanguzi ono yeewalidde ddala okubeetinga ku ttiimu ezimanyikidwa ennyo wabula n’akkirira mu bu liigi obutono. Emipiira gye yagironze mu Chile Primera Division, England League One ne Two, Finland-Ykkonen, International U20 Euro qualifications, Japan J2 League, USA MLS ne Poland Division One.

“Tiimu ezo ennene zimanyi okutta obupapula. Eno y’ensonga lwaki mbeetinga ku bu tiimu obutono era kizze kinkolera,” omuwanguzi ataayatuukiriziddwa manya bweyagambye.

Lisiiti ye (nnamba 3128016062639999) yagitaddeko emipiira 12 nga yagitumye obuwanguzi bw’awaka ne over ya ggoolo3.

“Nnamala dda okugula ettaka, kati ng’anda kulikulaakulanya ne ssente zino,” bweyayongeddeko.

Ssente zaamukwasidwa ambasada wa Fortebet, Alex Muhangiku kitebe kya Fortebet e Kololo.

Related posts

BANAUGANDA MUJJUMBIRE EBYOBULAMBUZI

OUR REPORTER

Museveni ayogedde ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku bajaasi ba UPDF e Somalia.

OUR REPORTER

Poliisi ekubye omu amasasi ng’ekwata abasudde emisanvu.

OUR REPORTER

Leave a Comment